2 Chronicles 2:14

14 ane nnyina y’omu ku bazzukulu ba Ddaani, nga ne kitaawe musajja w’e Ttuulo. Yatendekebwa mu kuweesa zaabu n’effeeza, n’ebikomo n’ebyuma n’okutema amayinja era nga mubazzi, ate n’okuluka engoye eza kakobe, n’eza bbululu, n’entwakaavu, n’eza bafuta. Era alina obumanyirivu mu kwola enjola ez’engeri zonna, era ayinza okuyiiya engeri yonna ey’okukolamu ekintu kyonna ekimuweereddwa. Y’anaakolanga n’abaweesi bo n’aba mukama wange Dawudi.

Copyright information for LugEEEE